Ecclesiastes 5:17-19

17Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
18 aNe ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 bAte Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.
Copyright information for LugEEEE